Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Luuka eriko omusajja owemyaka 37 gwegalidde, bweyakidde muwala wa mukazi we namusobyako.
Omukwate mutuuze we Kitwekyambogo mu Kiyunga Town Council nga kigambibwa nti bamukutte lubona ne kawala ke kano akemyaka 12, ngasinda nako omukwano.
Omukazi agamba nti yabadde afumba wabula, wabula bweyazeeko mu nnyumba yasanze omusajja azze ku mwana amukola ebyensonyi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Micheal Kasadha ategezezza nti basubira guno gwabadde mulundi gwa kubiri ngasobya ku mwana.
Kati ono aguddwako musango gwa kusobya ku mwana atanetuuka.