Bya Gertrude Mutyaba
Poliisi e Masaka eriko omuvubuka gwekutte lwakutta muganzi we.
Omukwate ategeerekese nga Sula Kigozi omutuuze womu Nyendo, Mu gombolola ya Nyendo-Ssenyange ku njego yego z’ekibuga kye Masaka.
Okusinziira ku Lameck Kigozi nga yayogerera poliisi mu greater Masaka, eyattiddwa ye Resty Nampijja myaka 22 nga kigambibwa nti ono baamukubye ekyuma oluvannyuma lwokumma muganzi we omukwano.