Bya Abubaker Kirunda
Omusajja ow’emyaka 37 attiddwa abatuuze ku kyalo Buseyi A mu gombolola ye Nakalama e Iganga, nga bamulanga kubba mifaliso.
Tom Gume nga mutuuze ku kyalo Namwiwa mu district ye Kaliro atasiddwa ssentebbe we kyalo Buseyi Ismail Waiswa.
Ono baamusanze n’emifaliso nebatandika okumukuba, okbadde nokukozesa ejambiya nebamutema, wabulanga sosse anadduka era n’ebamuyigga nga bamusanze mu kazigo mwasula nebongera okumukuba nebamutta.