Skip to content Skip to footer

Banamateeka ba Nambooze bagenda mu kooti

Bya Ivan Ssenabulya

Banamateeka b’omubaka we Mukono municipality Betty Nambooze  wetwogerera nga bategese okugenda mu kakiiko akakola ku by’edembe lyobuntu bakasabe okuyingira mu nsonga z’amuntu waabwe egaaniddwa okugenda mu India ajanjabibwe.

Bano nga bayita mu munamateeka  Erias Lukwago bagamba nti bwebava wano era bakutwala ensinga zino mu kooti enkulu , nayo ebeeko kyekola

Wabula Lukwago agambye nti ekikyabasibye kwekulinda alipoota zekisawo  oluvanyuma lwabasawo okwekebejja embeeraya Nambooze kakano ali e kiruddu.

Kinajukirwa nti Nambooze ono yakwatibwa ku lunaku lwakutaano natwalibwa e Nagalama, nga eno gyeyagibwa natwalibwa  e Kiruddu nga embeera gyalimu eyongedde okwononeka

Leave a comment

0.0/5