Bya Benjamin Jumbe,
Bannakyewa abalwanyisa obulyake mu ggwanga basanyikidde ekyekitongole ekiramuzi okuwa ekyambalo ekyenjawulo abakozi bakyo ngomu mu kawefube owokulwanyisa obuli bwenguzi mu kitongole kino.
Kino kidiridde ekitongole ekiramuzi okuvayo ne kyambalo eri abakozi bakyo nga kigamba nti kyakubayamba mu kutangira obuli bwenguzi obubadde bufumbekedde mu bakungu bakyo.
Omuwandiisi owenkalakalira owekitongole ekiramuzi Pius Birigimana,naye yavaayo nakakasa nga bwalina essuubi nti ebyambalo ebyaweebwa abakozi bya kuyamba mu kulwanyisa enguzi
Wabula mu kwogerako ne radio eno, akulira ekibiina kypobwannakyewa ekirwanyisa enguzi ekya Anti-Corruption Coalition Uganda (ACCU) Cissy Kagaba agamba nti entekateeka eno nnungi yadde nga wasanye okubaawo ekikolebwa ku bivaako enguzi.