MPIGI
Bya Sam Ssebuliba

Abatuuze mu district ye Mpigi batabukidde abakulembeze baabwe naddala Ssentebe wa district Peter Clever Mutuluza, olwokwesulirayo ogwa nnagamba ng’amagye agakuuma ennyanja gatulugunya abantu.
Bino abyogeredde mu kuziika omu ku batuuze agambibwa okuba nga yattidwa abajaasi abakuuma enyanja Nalubaale, oluvanyuma lwokusangibw ng’akozesa envuba etagwana.
Omugenzi ayogerwako ye Joseph Male, owemyaka 36 omutuuze w’e Lubanga mu gombolola y’e Nkozi eyattiddwa ngomulambo gwe gwasulibwa mu mazzi ku mwalo gwe Nakaziba mu bitundu by’e Nabyewanga.
Wabula Ssentebe wa district eye Mpigi yennyamidde olwebikolwa byabannamagye, nategeeza nga bwagenda okwogera nebekikwatako ku mbeera eno.