Bya Benjamin Jumbe,
Minisita avunanyizibwa ku byobugagga ebyómutaka, Dr. Mary Goretti Kitutu asomozeza bannauganda okweyambisa emikisa egiri mu kyobugagga ekya mafuta.
Kino kigidde mu kaseera nga gavt yakateeka omukono ku ndagano ezenjawulo wakati wa Uganda ne Tanzania ne kampuni za mafuta.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, Kitutu agambye nti emirimu egiwera ebitundu 57% mu bya mafuta gyakuweebwa bannauganda wabula asabye abagala okubaako obuweereza bwebakola mu bya mafuta okwewandiisa ku mukutu gwa national supply data base
Omulimo gwokuzimba omudumu gwa mafuta ogugenda okutwala amafuta ku mwalo e tanda e Tanzania gusuubirwa okitandika omwaka guno.