Skip to content Skip to footer

Baryamureeba Tanakiriza

Bya Damalie Mukhaye

Eyaliko omumyuka wa ssenukulu we ttendekero lye Makerere Prof Venansius Baryamureeba awakanyizza okulondebwa kwa Prof Barnabas Nawangwe ngomumyuka wa ssenukulu we Makerere omugya.

Professor Baryamureeba, nga yoomu ku banatu 4 ababadde bavuganya, ategezezza nti alina obujulizi obumala ntio obukiiko obwabadde bulonda bwakoze kyekubiira, awatabadde mazima na bwenkanya.

Olukiiko olwa Makerere University Council olunnaku olwe ggulo lwalonze Prof Nawangwe, Baryamureeba byonna ebyakoleddw byawakanya.

Ono ayambalidde Hon Thomas Tayebwa, omu kuba member bolukiiko olufuzi olwa University Council nti ye ngomuntu yabadde nebigendererewa bye mu ntekateeka zino.

Barya agamba nti ono abaddenga akozesa erinya lya minister webyenjigiriza, era mukomukulembeze we gwanga Janet Museveni nti yabadde tayagala bamulonde.

Wabula Tayeebwa bwatukiriddwa byonna ebimwogerwako abyeganye.

Agambye nti teri muntu yenna mu gavumenti yayingiridde kulonda kwe Makerere, kalenga kwabadde kwa mazima na bwenkanya

Leave a comment

0.0/5