Skip to content Skip to footer

Bebateberezza obubbi babasse e Rakai

Bya Malikha Fahad

Poliisi mu district ye Rakai etandise okunonyererza kungeri abantu gyebatwalidde amateeka mu ngalo, nebatta abantu 2 bebateberezza okubeera ababbi ba pikipiki.

Ezra Muhanguzi ne Ivan Mugera nga bombi batuuze mu Kabuga ke Kakuto mu district ye Kyotera, bebatiddwa.

Bino bibadde ku kyalo Kabwase mu gombolola ye Kibanda, mu district ye Rakai, ebbiina lyabatuuze bweribalaumbye, ngoluvanyuma lwokubatta emirambo gyabwe bagikumyeko omuliro.

Omudumizi wa poliisi mu district ye Rakai Nuwamanya Benard, agambye nti batandise okuyigga nananyini bbaala abantu bano webatiddwa, ayambeko mu kunonyereza.

Leave a comment

0.0/5