Bya Shamim Nateebwa
Omuyimbi Moses Ssali amanyidwa nga Bebe Cool avuddeyo nawa amagezi, Omubeezi wa Minisita wa Tekinologiya era omubaka omukyala owa district ye Kayunga Aidah Nantaba yetondera ab’ennyumba y’omugenzi Ronald Ssebulime.
Bebe Cool agambye nti ono yeyavuddeko okuttibwa kwomugenzi bambi atalina musango.
Ngayitta ku mukuttu gwe ogwa Facebook Bebe Cool ataddeko nti ‘Munange wadde nga buli omu ategeera ensonga yo ey’ebyokwerinda, kyandibadde ky’amagezi n’ovaayo newetondera ab’ennyumba ya Ssebulime kuba okutya okwo kwekwavuddeko okutta omusajja atalina musango’
Ayongeddeko namusana nti atuule wansi ne poliisi ya baatekewo ensawo egenda okuyamba abaana ba Ssebulime okusoma n’ebyetaago byabwe, mu bulamu obwabulijjo.
Bagambye nti bino bijja kukola nnyo amakulu.