Skip to content Skip to footer

Besigye akubye ebituli mu nteseganya ze gwanga

Bya Ivan Ssenabulya

Eyali presidenti wekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye akaubye ebituli mu ntekateeka ezigenda mu maaso, okutakawo okuteesa kwe gwanga, bwategezeza nti mpaawo kiyinza kuvaamu olwobunanfuusi obuliwo.

Bwabadde atuuse obubaka bwe obwa Easter ku wofiisi ze ku Katonga Road mu Kampala, Besigye anokoddeyo ebintu byagamba nti bikulu okuli okubba ensimbi ze gwanga nokunyakula ettaka lyabantu, nti byebikulu era ebigwana okusimbibwako amannyo.

Agamba nti ngabali mu buyinza bagenda mu maaso okwolesa obunananfuusi,Uganda teyinza kubeera na nteseganya nezivaamu ebibala.

Kati asabye bban-Uganda ebiboozi byokuteesa obutabitekako maaso, wabula balume nogwe ngulu okuletawo enkyukakyuka mu gwanga.

Leave a comment

0.0/5