Bya Damalie Mukhaye
Minista wa Kampala Betty Olive Kamya alagidde abatembeeyi bamuke mangu enguudo zekibuga, okuwa absubuzi abali mu mduuka okukola obulungi mu nnaku za sekukulu.
Bwabadde ayogera ne banamwulire amakya gano ku Media Centre, mu Kampala Kamya agambye nti abatembeeyi baleese nomujjuzo mu kibuga, nekivaako akalippagano kebidduka nobubbi obweyongera.
Kino agamba nti kisaliddwayo oluvanyuma lwabasubuzi mu maduuka abwa omusolo okwemulugunya.
Katai ategezeza ngabasirikale ba poliisi nabakwasisa amateek aba KCCA, bwebali obulindaala oluvanyuma lwekiragiro kino okukwata abatembeeyi bonna abanesisigiriza.