Bya Samuel Ssebuliba.
Omubaka wa Palamenti owa Kyadondo East Robert Kyagulanyi mukaseera kano ali mu kujanjabibwa mu gwanga lya America ayogedeko n’omukutu gwa Al jazeera nagamba nti mubyona byakola ekimusuza nga teyebase kwekulaba nga Uganda efuna emirembe egy’enkomeredde.
Ono agambye nti Uganda eno gwanga eriteetaga kudda muntalo, oba okuyiwa omusaayi okwekika kyonna, kubanga bakade baffe nga bakulemberwa President museveni kino baakikola.
Ono akikaatirizza nti Uganda ye gyalaba erimu abantu ba mirundi 2 – abanyigirizibwa , nabanyigiriza, kyoka nga ekyewunyisa kwekuba nti abanyigirizibwa nemukibiina kya NRM ekifuga namwo mwebali.
Bwabuuzidwa ku ky’okudda kubutaka ono agambye nti kino akyesuga nga mbaga, kale nga newankubadde alowooza kubiyinza okumugwako nga akomyewo mu Uganda, talina kyakukola kubanga wano bwebutaka.
Kyoka gyebuvudeko ayogerera government ye gwanga Ofono Opondo ono yamulambika nti wadembe okudda kubutaka, kubanga siyaasose, era nga govumenti tewali kyegenda kumunyega.