Bya Prossy Kisakye,
Ssenkagale wa National Unity Platform, Robert Kyagulanyi aka Bobi wine, ategezeza nga bwagenda okudayo e Kalangala anonye akalulu
Kino kidiridde mu ssabiiti ewedde poliisi okutangira Kyagulanyi okwogerako na bawagizibe ku bizinga bye kalangala ne mutika ku nyonyi eyamuza mu makage e Magere, nábawagizi be abasoba mu 90 bagombwamu obwala
Mu kwogerako ne bannamawulire olunaku lwa leero ku kitebe kye kibiina e Kamwokya, Kyagulanyi asabye akakiiko ke byókulonda obutasirika wabula eveyo ku kutulugunyizibwa okubakolwako abakuuma ddembe
Wabula nawera nti akakiiko ne bwekanefuula nga akatalaba bigenda mu maaso ye wakusigala nga anonya akalulu era alina okutuuka e kalangala