Skip to content Skip to footer

Buganda eyagala Pulezidenti ateese n’abavuganya gavumenti.

Bya Samuel Ssebuliba.

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde omukulembeze wa Uganda okutuula ateese nabamuvuganya, mukifo ky’okudda mukusika omuguwa, kko n’okukozesa obukambwe obuyitiridde.

Katikiro okwogera  bino abadde  mu lukiiko lwa Buganda olukubaganyizza ebirowoozo ku kwogera kwa Kabaka  bweyali aggulawo olukiiko olwa 26th naagamba nti abantu abeegwanyiza obukulembeze ku mirembe gyonna babadewo, era nga tebagenda kuvaawo.

Kati ono agamba nti okuvuganya okugenda mu maaso kutiisa era nga tekugwana, kale nga president agwana ayite baavuganya nabo, bakaanye kungeri enungamu buli omu gyagenda okukozesa okutuuka ku bannayuganfda.

Leave a comment

0.0/5