Bya Damali Mukhaye, Abakungu abalondola enkola y’okusomesa abayizi eri kumutindo eyayisibwa minisitule y’eby’enjigiriza mu mwezi gwo 7 omwaka guno bategeezezza nga bwe waliiwo akasoobo mu kuyiga kw’abayizi mu disitulikiti y’e Yumbe.
Annet Nannyombi, omuvugirizi wa Twaweza East Africa ategeezezza nga bwe baali tebanatongoza nkola eno abayizi abasinga mu kibiina eky’okuna baali tebasobola kusoma bigambo ebimu ,kwossa n’okubyatula.
Ono ategezeezza nga embeera bwetanaba kukyukakko ekintu ekiraga nti abasomessa abamu tebakoze kimala.
Agaseeko nga okunonyerezza okwakolebwa mu disitulikiti y’e Yumbe mu mwaka gwa 2017 bwe kwalaga nga abaana okutegeera kwabwe ku kyali wansi ddala.
Ono wabula alina essuubi n’enkola eyatongozebwa gye buvudeko nga bwegenda okukyusaa muntegeera y’abayizi okusobola okuyingiza ebibasomesebwa.