Bya Ritah Kemigisa.
Mu district ye Lira Police etandiise okunonyereza ku ngeri abatuuze gyebaseemu abasajja bana ku kyalo Kichope mu divison ye Onjwina nga bano babalanze kubeera banyazi.
Twogedeko n’ayogerera police ya East Kyoga David Ongom, n’agamba nti bano battidwa mu kiro ekikeeseza olw’aleero.
Eno abatuuze babazinzeeko nga babalanga kumenya saloon nebabamu buli kibadde munda.
Ono agamba nti kubano omuntu omu yekka ategerekeseeko elya Bonny Odong yawonyeewo, nga ono kaano atwaliddwa mu dwaliro lye Lira referral hospital.