Skip to content Skip to footer

E Makerere abayizi bawera si bakupondoka

Bya Prossy Kisakye, Abayizi ku ttendekero e Makerere balayidde nti bakugenda mu maaso n’okwekalakaasa nga bawakanya eky’abakulira ettendekero lino okwongeza ebisaale ne bitundu 15%

Abayizi abasoba 45 abaakwatibwa mu kwekalakaasa okwatandika ku lunaku lw’ebbaza olunaku lw’eggulo baayimbuddwa okuva mu budukulu bwa poliisi obw’enjawulo ku beyilo oluvanyuma lw’okugulwako emisango gy’okukunga abayizi okwekalakaasa n’okwonoona ebintu

Bano nga bakulembedwa abakulira ku ttendekero Julius Kateregga, bagamba nti baakugenda mu maaso n’okuwakanya ensimbi zino ate sibeetegefu kuteesa n’abakulu b’ettendekero oluvanyuma lw’okulagira poliisi okubakolako obukambwe.

Abayizi bano baatandika okwekalakaasa ku lunaku lw’ebbalaza nga bawakanya abakulira ettendekero okwongeza ebisaale ku bayizi abayingira ettendekero ne bitundu 15%

Wabula ye amyuka kyansala wa makerere Prof Nawangwe agambye nti abayizi bamala budde bwabwe okwekalakaasa kuba ensimbi zino zasalwawo dda akakiiko akadukanya ettendekero era balina kugondera nteekateeka.

 

Leave a comment

0.0/5