Skip to content Skip to footer

Ebago ly’eteeka ku musaala ogw’essalira likomawo.

Bya Ivan ssenabulya.

Ministry ekola ku kikula ky’abantu etegeezeza bwegenda okuddamu okutwala ebago ly’eteeka ku musaala ogutandikirwako-Minimum wage – mu cabinet nate omuludi ogw’okubiri likubaganyizibweko ebirowozo.

Kinajukirwa nti ebago lino lyatuukako mu cabinet kyoka nerigaanibwa olw’ensonga ez’enjawulo, nga  baminister bagamba nti lyakukosa eby’enfuna

Kati omuwandiisi ow’enkalakalira mu ministry eno Pius Bigirimaana agamba nti ebago lino bamaze okulyetegereza ekimala, kale nga ligenda kudda mu cabinet mu bwangu dala.

 

Leave a comment

0.0/5