Bya Musasi waffe
Ekitebbe kya America mu Uganda basazizaamu entekateeka gyebabadde nayo, okulondola okulonda kwa Uganda okwolunnaku lwenkya.
Bagambye nti kivudde ku kakiiko kebyokulonda, okugaana okuwa abanatu baabwe kyenkana 75% olukusa okwekennenaya okulonda kuono.
Omubaka wa America mu Uganda Natalie Brown agambye nti abantu 15 bokka bebakiriziddwa okulondooola okulonda kalenga tebajja kusobola kukolera mu mbeera eno.
Ono agambye nti waddenga babekubyeko entakera, omulundi ssi gumu, akakaiiko kebyokulonda kabaddi tekabawuuna.
Natali agambye nti ekignederewa kyokulondoola okulonda kwekuakakasa nti ddala kwabadde kwamazima na bwenkanya, era okwonger okunyweza empagi za democrasiya
Akakiiko kebyokulonda kabaddi tekanennyolako ku nsonga zino.