Bya Kyeyune Moses.
Speaker wa parliament Rebecca Kadaga asabye ministry ekola ku by’obulamu okufaayo ku bantu abaavu nga ewa obunanjabi, sosi kubakana musimbi omungi.
Ono okwogera bino kidiridde minisita omubeezi akola ku by’obulamu Sarah Opendi okusoma ekiwandiiko nga kikakasa nga uganda cancer institute bwetanduse okusaba akasimbi eri abantu abakozesa edwaliro lino wakati we mitwalo 300,000 ne 7,4 million.
Kadaaga yasoose kukunya Ministry eno nga ayagala enyonyole gyeyajja obuyinza obuteekawo ensimbi ezirina okusasulwa nga tebamanze kwebuza ku parliament.
Kati kadaga yagambye nti bweguba gutyo abaavu bafiibweko mungeri ey’enjawulo