Bya Damali Mukhaye.
Olunaku olwaleero company eyawebwa ogw’okuzimba ekizimbe ekya church house kaakano ekibuddwamu elya St Janani Luwum Church House wano ku Kampala Road bamaliririzza omuliomo, era ekizimbe nebakikwasa abakulu mu kanisa ya uganda.
Bwabadde akwasibwa ekizimbe kino, ssabalabirizi we kanisa ya Uganda His grace Stanley ntagali agambye nti kino kiwemense obuwumbi 30, wabula nga kigenda kuba kyankizo mukuliikiriza ekanisa ya uganda
Ono agambye nti nga beesigama ku nsimbi ezinaava mu kizimbe kino, bagenda kuduukirira obusumba obw’enjawulo, okuzimba amalwaliro, amasomero n’ebirara bingi kumusingi gw’ekanisa