Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kyebigezo mu gwanga ekya Uganda National Examination Board kifulumizza, entekateeka egenda egenda okugobererwa mu kuwandiisa abayizi abanakola ebigezo ebyakamalirizo ebya 2019.
Okusinziira ku sasbawandiisi wekitongole kya UNEB Daniel Odongo, okuwandiisa aba PLE nemitendera emiralala kwakutandika omwezi ogujja, nga kusubirwa okukomekerezebwa nga 31st May.
Ate abanelemererwa aokukuuma aobudde bakauweebwa ssale ssale owokubiri nga 1st June ne 30th June.
Kati ono asabye amasomero naddala agalimu enkola ya gavumenti eya bonna basome, okufaayo okukuuma obudde.
Kati ebisale, aba PLE basabiddwa emitwalo 12, aba S4 emitwalo 17 mu 9,000 nemitwalo 24 eri abanatuula S6.