Bya Kyeyune Moses
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde kalaani wa palamenti, Jane Kibirige okukola entegeka okulangirira ekiffo kyomubaka wa Sheema North nti kikalu.
Kino kidiridde, abadde omubaka wekitundu kino Dr Elioda Tumwesigye, okulekulira bweyawangudde ekiffo ekiralala mu palamenti ngomubaka wa munisipaali ye Sheema.
Bino abyogedde akakwungeezi kano bwabadde akakasa, nga Dr Tumwesigye bweyalekulidde.
Dr. Elioda Tumwesigye era olwaleero akubye ebirayiro bye ngomubaka omuggya mu palamenti.
Kko akakiiko kebyokulonda kati kekalina okutegeka okulonda okugya mu kifo kino.