Bya Samuel Ssebuliba.
Wetwogerera nga buli kimu kiwedde okutegeka wano mu kisenge ekya Serena International Conference Centre ewali omukolo ogw’okusoma embalirira ye gwanga eyomwaka 2018-2019.
Embalirira eno yeegenda okutandika nga1st July 2018,nga egenda kuvugirirwa n’obwesedde 24 nga buvudde wano munda mu gwanga, songa obwesedde 7 bwakuva bunaayira nemubagabirizi b’obuyambi.
Wabula budget eze n’ekikangabwa eri banna- Uganda , oluvanyuma lwa government okuleeta emisolo emikambwe, gamba nga omusolo ku mobile money gwa nusu 1%, nusu 200 ku social media, ebintu nga butto, omwenge gwa kibuku byateredwako emisolo emipya.