Bya Magembe Sabiiti
Poliisi mu ttundu tundu lya Wamala, ekyalemereddwa okuzikulayo emirambo gyabavubuka 2 abafira mu birombe bya zaabu ku kyalo Lujinji mu gombolola ye Kitumbi e Kassanda.
Kaati ziweze wiki bbiri bukyanga abavubuka bano okuli, Byamukama John ne Muyingo Nassani bafira birombe bino.
Poliisi emaze ennaku 4 ng’eyikuula ekinnya, naye emirambo gikyabuze.
Kati abakulembeze be kyalo naboluganda lwabagenzi, baliko byebatubuliidde.