Bya Sam Ssebuliba
Gavumenti ejjeewo emitendera ejimu, ejiyitwamu okuzzaawo sim carda ezibeera zibuze.
Bwabadde ayogera ebyo ebyatukiddwako mu lutuula lwaba minister olwa Balaza, akulira media center Shaban Bantaliza ategezeza nti kyakanyiziddwako, emisoso gino okutwalanga olunnaku lumu ngakakiiko akebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda communications commission, kekanavunayizbwanga.
Kati UCCU ewereddwa ebyuma ebisoma card 50 nga byakutekebwa mu biffo 50 okwetoola egwanga okuwandisanga abantu, ne ndaga muntu zaabwe.
Ebiffo bino byakutandika okukola ku Blaza.