Bya Malikh Fahad
Entiisa ebutikidde abatuuze be Kyalurangira mu district ye Rakai ente bwetomedde omukazi owemyaka 68 nemutta.
Bino bibadde ku kyalo Lubumba mu gombolola ye Kyalunlangira, ng’omugenzi ye Hadija Nalubega.
Okusinziira ku Hamza Bunkeddeko mulirwana womugenzi, ente eraluse netomeratomera omukazi ono.
Omudumizi wa poliisi mu district ye Rakai Bernard Nuwamanya, akakasizza enjega eno.