Bya Magembe Ssabiiti
Amyuka luweekula asooka mu Sazza ly’e Buwekula mu disitulikiti ye Mubende Owek Andrew Mukasa Ssempijja asabye abantu ba Kabaka e Buwekula okwenyigira mu mikolo gy’o’kuza amatikira ga Ssabasajja Kabaka agalibaawo nga 31st Omwezi guno mu Lubiri e Nkoni mu Buddu.
Owek Ssempijja asabye abaami ba Kabaka mu ggombolola ez’enjawulo mu Buweekula okutegeka mayiro ya Bulungibwansi nga ku mulundi guno essira bagenda kuliteeka nnyo ku butonde bw’ensi e Buwekula nga bagenda kusimba emiti.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’essaza e Kaweri ategeezezza nti Buwekula ku myaka 28 egya Ssabasajja nga atudde ku Nnamulondo essaza lisajjakudde omubadde n’okufuna ettabi lya Ssettendekero wa Muteesa I Roayal University.