Skip to content Skip to footer

Enyumba ya saabakiristu bagyocezza lwa bulogo

Bya Sadat Mbogo

Poliisi mu district y’e Mpigi ekutte abantu 4 abagambibwa nti bakkakanye ku nnyumba ya Ssaabakristu nebajikumako, nga balumiriza bbaawe okweyenyigira mu bikolwa bya kalogo kalenzi.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Katonga Joseph Tulya, abakwate bayokezza ennyumba ya Ssaabakristu Specioza Birabwa ow’ekisomesa ky’e Kanyike ku kyalo Lunyerere mu ggombolola y’e Kammengo.

Kigambibwa nti bagezezaako nokulwanyisa bba Gabriel Ssendagire nga bamuneya okweraguza.

Wabula poliisi egamba nti abakwate nabo basamize, era babadde berimbika mu diini okulwanyisa musamize munaabwe.

Leave a comment

0.0/5