Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyamazzi mu gwanga, National Water and Sewerage Corporation balangirirdde nti essundiro lyamazzi erya Mukono-Katosi lijiddwako engalo.
Mu kiwandiiko ekivudde mu kitongole, bagambye nti batandise omulimu gwokugezesa ogugenda okukulungula ennaku 15 nga batunuliira entambula yamaziz.
Omudumu bwaguuga ogugenda okutambuzza amazzi gyliko obuwanvu bwa KM 51 nga guysibuka katosi ku mwalow gwe Ssumbwe, okudda ku lusosozi e Nsumba, okuva awo amazzi netukira e Ssonde okudda e Namugongo olwo awamu negakunganira e Naguru mu tterekero eryawamu.
Ekifo kino kigenda kusund amazzi liita obukadde 160, buli lunnaku okwongera ku bungi bwamazzi mu disitulikiti za Kampala nemirirwano.