Bya Abubaker Kirunda
Poliisi ye Bugiri eriko omukazi owemyaka 30, gwekutte olwokubba ebikunta mu loogi.
Maureen Naigaga kigambibwa nti yabbye, ebifaliso 2 ne bulanaketi, mu logo emu, mu Kabuga ke Mbiko mu munispaali ye Njeru.
Ono oluvanyuma yaddukidde Bugiri, gyansangiddwa nga yekukumye.
Ssentebbe we kyalo Katawo, omukwate gyasangiddwa Musa Bazibu akaksizza bino.