Skip to content Skip to footer

Eyafiirwa Omwana ayagala kuliyirirwa

Bya Ruth Anderah,

Maama eyafiirwa omwana owemyaka 15 mu kwekalakaasa okwaliwo mu mwezi ogwa 11 omwaka oguwedde, abawagizi ba Senkagale wekibiina kya NUP bwebeyiwa kunguudo nga bawakanya okukwatibwa kwomuntu wabwe mu disitulikiti eye luuka gye yali agenze okunonya akalulu, adukidde mu kkooti nga ayagala kuliyirirwa.

Hajara Nakitto agamba nti yafiirwa omwana Amos Ssegawa gweyali asuubira ebingi kuba yali mwana mugezi nyo.

Nakitto okuyita mu bannamateekabe aba Kiiza Mugisha and company advocates awabidde gavt olwa basirikale baayo okukuba omwanawe essasi eryamutta

Ssegawa yafa nga yakatusibwa mu ddwaliro e Mengo ku Doctor’s clinic.

Leave a comment

0.0/5