Skip to content Skip to footer

Eyajjamu olubutto bamuvunanye

Bya Ruth Anderah

Kooti yekibu etuula ku City hall etaddewo olwanga 20th October 2017 okutandika okwulira omusango gwomuwala owemyaka 20 avunanibwa okujjamu olubuto.

Mutonyi Vickie asimbiddwa mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka, Moses Nabende wabula omusango nagwegaana.

Muntonyi yewunyisizza kooti, bwebamubuzizza kyamanyi ku lubuto lwe, ngamba nti naye tamanyi obanga akyli lubuto.

Oludda oluwaabi lugamna nti mu mwezi gwa September omwaka guno awo mu Kifumbira Zone e Kamyokya mu Kampala, Mutonyi nga yali lubutto yekamirira agaweke, olubuto neruvaamu.

Kati asindikiddwa e Luzira ku alimanda ajjir abaeera eyo.

Leave a comment

0.0/5