Bya Ruth Anderah
Kooti ejjulirwamu, ekendezezza ekibonerezo ekyemyaka 38 okudda ku myaka 22 ekyali kyaweebwa omusajja ku misango gyokukuba kkondo.
Omuvunaanwa Byaruhanga Okot yabba akasimu ka Nokia nemitwalo 6 mu mpeke, nga 12 May 2010 e Mpigi.
Kooti enkulu e Mpigi yeyali yamuwa ekibonerezo kino, wabula natamatira kwekujulira, era kooi yakiunuddemu nti ekibonerezo kyali kinene nnyo ku musango gweyazza.
Oludda oluwaabi lugamba nti emisango yagizza nga 9 July mu mwaka gwa 2008 ku kyalo Mirambi A mu disitulikiti ye Mpigi.
Ebintu byeyabba byai bya Nalongo Zaniha Scovia nga yamutisatiisa nekissi.