Skip to content Skip to footer

Eyali asobya ku mukyala mu kabuyonjo akaligiddwa.

Bya Ruth Anderah.

Waliwo omutuuze mu  Mulimira zone e Kamwokya  asindikiddwa e luzira lwakugezaako kusobya ku mukyala nga ali mu kabuyonjo.

Benjamin Niragire yalabiseeko  mu maaso g’omulamuzi wedaala erisooka ku city hall Beatrice Kainza emisango nagyegaana.

Kigambibwa nti omusajja ono ow’emyaka 20 yasangibwa lubona nga yeenyoola n’omukyala ono eyali mu kaabuyonjo nga ayagala kumusobyako, police n’emukwata .

Obujulizi obuliwo bulaga nti on omusango yaguzza nga August 15th 2018.

Kati ono wakudda mu kooti nga wayise sabiiti 2 okumanya ensonga zomusangogwe wezituuse.

Leave a comment

0.0/5