Bya Benjamin Jumbe
Kikakasiddwa nti eyaliko minister w’ebyobulamu Dr James Makumbi afudde.
Makumbi yaliko omubaka we ssaza lye Baale, ngafiride mu maka ge Kayunga.
Aboluganda bwetwogedeko nabo bagamba nti Dr Makumbi abade yagenda mu maka ge age Kayunga okuwumulako, wabula adusiddwa mu dwaliro kipayoppayo ngembeera etabuse, era tewayise dakiika nebabategeeza amawulire gokufa kwe.
Omugenzi yakolako ngakulira eby’obulamu mu magye ge gwanga aga UPDF okumala ebbanga.
Mu kaseera kano omulambo gwe gutwalidwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Mungeri yeemu omuwandiisi owenakakalira mu ministry yebyobulamu Dr. Diana Atwine akakasizza amwulire gano.