Bya Kato Joseph.
Police ewadde eyali omuyambi wa Gen Kale kaihura enaku 2 zokka nga komyeewo mu polisi oba sikyo kitwalibwe nti yaduka mu polisi.
Ono nsalesale amuwereddwa aduumira polisi Martins Okoth Ochola, nga ono ategeezeza nti omukulu ono Jonathan Baroza baali baamuwa enaku 14 okudda ku mirimo gyebamusindika mu Algiers ekya Algeria okutandika nga July 10th, kyoka okuva olwo abade yebuzabuza.
Ayogerera police ye gwanga Emillian Kayima ategeezeza nti Baroza ono alina okugondera amateeka adde ku mirimo oba sikyo wakuyiggibwa nga mumenyi wamateeka.
Baroza ono yasindikibwa okukolera mu Algiers oluvanyuma lw’abantu okutandika okumuyunga kukabinja akatta Andrew Felix Kawesi.