Skip to content Skip to footer

Eyali yabuzibwawo basanze mulambo

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza kunfa yomusajja eyabuzibwawo mu makage noluvanyuma nattibwa.

Omugenzi ategerekese nga William Mukasa eyabuzibwawo mu makage e Kawaala sabiiti eyise.

Okusinzira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala ne miriraano Luke owoyesigire, Mukasa yabula sabniiti ewedde era omulambo gwe baguzudde nga gusuulidwa okuliraana amakage e kawaala

Owoyesigire agamba nti omugenzi basoose ku mukuba okusinzira ku bizigiro ebyasangibwa ku mubiri gwe era nga kyandiba nga kye kyamuvirideko okufa.

Ono agamba nti okunonyereza kunsonga eno okuzuula bakabulittemu ku kyagenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5