Bya Shamim Nateebwa
Omusajja awonedde watono okutibwa naleeteddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga’pooca n’ebiwundu oluvannyuma lw’okulwanagana n’engo ebuzeeko akatono okumuggya mu bulamu bw’ensi.
Godfrey Lutalo omutuuze ku kyalo Miganyi mu district ye Nakaseke y’aleteddwa mu ddwaliro e Mulago ng’leenya n’ebiwundi ku mutwe neku mikono nomugongo.
Lutalo yabadde agenze mu nnimiro ye eya kasooli okutangira enkima ezibadde zimuliranga Kasooli we wabula bwe yakutte enkonyogo okukasukira enkima zonna ne zidduka teyategedde nti zabaddemu nengo, oluvanyuma eyamulumbye.
Kigambibwa engo yamubukidde nemutagula obulago abantu be nebamuyoolayoola okumuutwala mu kalwaliro okufuna obujjanjabi obusookerwako oluvanyuma gyebamugye okumuleta e Mulago gy’ajanjabibwa mu kiseera kino.