Bya Ruth Anderah.
Omusajja ow’emyaka 30 awereddwa ekibonerezo kyakwebaka mu kkomera e Luzira okumala emyaka 7 lwakwegadanga na mwana muto ng’akimanyi bulungi nti alina akawuka akaleeta mukenenya.
Kakooza Bosco asimbiddwa mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Kazibwe Moses amuwadde ekibonerezo oluvanyuma lwa ye kenyini okukiriza omusango.
Kakooza ategezezza omulamuzi nti yakozesa omuwala ono ow’emyaka 15 gyoka kyoka mukiseera ekyo yali takimanyi nti alina akawuka akaleeta mukenenya.
Omulamuzi amuwadde ekibonerezo ekisaamusaamu kuba omwana eyasobezebwako teyafuna kawuka kano
Omusango yaguza nga August 19th 2016 e Mutungo zone 5 mu division ye Nakawa wano mu Kampala.