Malik Fahad, Omusajja eyagya kitaawe mu bulamu bw’ensi eno asaliddwa ekibonerezo kya kumala emyaka 33 mu mbuzi ekogga.
Godfrey Ssenyange ow’emyaka 35, asindikibwa mu kabula muliro omulamuzi Dr. Winfred Nabisinde owa kkooti enkulu e masaka oluvanyuma lwobujulizi okumulumika nti ddala kituufu yatta kitaawe
Omuwaabi wa gavt Amina Nkasa, yategezeza kkooti nti ssenyange omusango gwo butemu yaguza nga 2nd omwezi ogwa musenene omwaka 2017, bweyakakana ku kitaawe eyamuleeta munsi namugwa mu bulago namutuga oluvanyuma lw’okufuna obutakanya
Kigambibwa nti taata wa ssenyange yagaana okumuwa ekitundu ku ttaka ekyannyiza ssenyange kwe kumutuga
Mu kiseera kino ssenyange yali abeera ne kitaawe Nkoni, mu gombolola ye Kingo mu district ye lwengo
Bwatyo n’omulamuzi tabadde mubi kwe kumukaliga emyaka 33 nga agamba nti ekikolwa kyeyakola kyalivve nyo tasaana kubeera mu bantu mungeri yemu omulamuzi ategezeeza nti kyavudde amukaliga emyaka egyo lwakuba tatawanyiza kkooti oluvanyuma lw’okukiririzaawo nti omusango yaguza.