Bya Ruth Anderah
Omukazi ow’emyaka 47, bamusindise mu nkomyo yebakeyo emyezi 20 lwakubba sente za kibiina.
Nakase Phiona asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka e Makindye, John Robert Okipi amusomedde omusango gw’obubbi nagukiriza.
Ono okukiriza omusango, ekkomera lisoose kumunyiga oluvanyuma lw’okumala ku alimanda emyezi 7 ngabaddenga yegaana.
Wabula bweyaleteddwa yasabye kkooti, baddemu okumusomera omusango era bwebgumusomedde nagukiriza.
Kati omulamuzi alagidde abekitongole kyamakkomera bamusibeyo emyezi emirala 20.
Ssente ezabibbwa zaali obukadde 4 nemitwalo 90 million nga zaali za Moses Kiwanuka.
Oludda oluwaabi lugamba sente zino, zabibbwa mu February w’omwaka 2020 e Gaba, nga Kiwanuka yazikwasanga omukazi ono azitwaleyo mu kibiina wabula teyazitusanga.