Bya Malik Fahad.
Ku kyalo Kyakuduse e Kyotera waliwo omusajja akedde okwetta bwakitegedeko nti akawuka ka mukenenya kaamukwatadda.
Joseph Kayiwa nga ono ye ssentebe w’ekyalo Kyakuduse agambye nti omusajja eyesse Godfrey Matovu era nga ono asangiddwa nga alengejera ku muti gw’omuyembe okumpi n’amakaage.
Kigambibwa nti ono egulo yagenze neyekebeza akawuka ka mukenenya, wabula bweyakizuude nti mukeenya amuluma naanyiga nasalawo n’okweyawula ku bantu
Lameck Kigozi nga ono yayogerera police yeeno akakasizza okufa kw’ono.