Skip to content Skip to footer

Ezzike lisse omuntu e Rakai

Bya Malikh Fahad

Obunkenke bweyongedde eri abatuuze mu gombolola ye Kabira mu district ye Rakai, ezzike bweryalumbye ekitundu.

Ezike lino akakwungeezi akayise lilumbye ekyalo Mabale neritta omuntu omu.

Omugenzi ye Edward Mubiru nga yoomu ku bantu 10 ababadde bekozeemu omulimu, okuliyigga balitte.

Ssentebbe we gombolola eno Richard Kalanzi, akitadde kubekitongole ekirera obutonde bwomu ttale, bagamba nti baaluddewo okujja okubayamba waddenga, bayitiddwa.

Yye omwogezi wekitongole kya Uganda Wildlife Authority Bashir Hangi, abadde tanafunika okubaako kyenayonyola.

Leave a comment

0.0/5