Gavumenti esabidwa okwanguyirizako okuyisa ebbango lye tteeka erikwata ku mmere ne ndya erya food and nutrition bill okusobola okunogera eddagala ekizibu kye byokulya ebitali ku mutindo.
Omulanga guno gukoleddwa ekibiina kyobwannakyewa ki PELUM Uganda omwegatira ebibiina byobulimi mu ggwanga, oluvanyuma lwa Kenya okusooka okuwera kassoli alimibwa wano olwomutindo omubi.
Mungeri yemu abalimi okuva Adjumani ne Iganga basabye gavt okuyambako abalimi ba kasooli nga babaterawo ebifo ebirungi mwe bayinza okumutereka natayononeka