Bya Rita Kemigisa,
Gavt enenyeza senkagale we kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi okulimba eggwanga ku bikwata ku bukuumi bwa famileye
Kino kidiridde Kyagulanyi okudusa abanabe mu ggwanga nga agamba nti yali atebuse olukwe olwokwagala okubawamba nokwagala okumutuusako obulabe ne mukyalawe
Wabula omwogezi wa gavt Ofwono Opondo ategezeza nti Bobi Wine yeyogeza bweyogeza ebitaliimu nsa
Opondo agambye nti gavt terina kyeyagala Bobi wine era ne Museveni alina likoda eyobutalumya yadde okutta munnabyabufuzi amuvuganya
Ono agamba nti aboludda oluvuganya bino bazennga babyogera nawa ekyokulabirako ekyeyaliko senkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye ne mukyalawe Winnie Byanyima bwebategeeza nga gavt bweyali egenda okuwa Besigye obutwa mu kkomera e Luzira mu 2006.