Bya Ben Jumbe.
Minister e akola ku bigwa tebiraze Eng. Hillary Onek atabukidde ebibiina by’obwanakyewa, byagamba nti byaremesa government okufuna obuyambi obwalina okugenda eri ababundabunda.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire minister agambye nti omwaka oguwedde baategeka olukiiko nebayita abakulembeze n’abagabirizi b’obuyambi kaweefube ono nebamusaamu obuwumbi 4, amawanga negeeyama okuwa Uganda obukadde bwa doller 540 , kyoka government yafunako akadde ka doller kamu n’ekitundu okuva mu gwanga lya china ne India.
Kati ono agamba nti government etandise okunonyereza ku bibiina bino, binyonyole lwaki byanyag government.