Bya Ben Jumbe.
Minister akola ku nsonga z’amawanga amalala Henry Okello Oryem,anakuwalidde banabyabufuzi abatandise okukunga abagabirizi b’obuyambi okulekeraawo okuwa Uganda obuyambi
Kino kidiridde omubaka wa Kyadondo East Mp Robert Kyagulanyi nga ali wamu ne munamateekawe we Robert Amsterdam okukunga egwanga lya America okukoma okuwa Uganda obuyambi.
Ono agamba nti singa egwanga litekebwako envumbo buli muntu agenda kunyigirizibwa, kale nga abakola kino sibamwoyo gwa gwanga.