Bya Ssebuliba samuel
Government eteereddwa kuninga olw’okulemwa okutuukiza ebimu ku bisuubvizo byezze ekola.
Bwabadde asooma alipoota eyakoleddwa akakiiko akalondoola ebisuubizo bya government ,ssentebe w’akakiiko kano Hassan Kaps Fungaro yagambye nti kuluno esiira baalitadde nyo ku byasuubizibwa naddala mu by’enguudo, kko n’ebyobulamu.
Alipoota eno yalaze nti ebisuubizo 92 by’ebyaakolebwa, nga kubino, 65 byali mu nguudo kko n’okuzimba,kyoka 21 byebatuukirizibwa.
Ebusuubizo 27 byasubizibwa mu byabulamu wabula kubino musanvu byokka byebyakateekwebwa mu nkola.
Wabula mu kwanukula ssabaminisita we gwanga Dr Ruhakana Rugunda yagambye nti nabo babyagala, wabula omutawaana gwa nsimbi.